Exodus 37:17-24

Ekikondo ky’Ettaala

17 aYakola ekikondo ky’ettaala nga kya zaabu omuka. Yakiweesezaako entobo yaakyo n’enduli, n’ebikopo ebifaanana ng’ebimuli, amatabi n’emitunsi n’ebimuli byako; byonna yabiweesa mu kyuma kya zaabu kimu bulambalamba. 18Kwaliko amatabi mukaaga agafaanana ng’omutuula emisubbaawa; amatabi asatu nga gali ku ludda lumu n’amalala asatu nga gali ku ludda olulala. 19Ku ttabi erimu kwaliko ebikopo bisatu nga bikoleddwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi n’ebimuli, ate bisatu ne bibeera ku ttabi eddala, n’ebirala bisatu ne bibeera ku buli limu ku matabi amalala okutuusa amatabi omukaaga gonna agava ku kikondo ky’ettaala lwe gaabuna. 20Ku kikondo ky’ettaala kwennyini kwaliko ebikopo bina ebyakolebwa ng’ebimuli by’alumondi n’emitunsi gyabyo n’ebimuli byako. 21Omutunsi ogumu gwali wansi w’amatabi abiri agava ku kikondo ky’ettaala, n’omuntunsi ogwokubiri ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddirira, n’omutunsi ogwokusatu ne gubeera wansi w’amatabi abiri agaddako, amatabi gonna omukaaga ne gabuna. 22 bEmitunsi n’amatabi gaako yabikola bumu n’ekikondo ky’ettaala mu zaabu omuweese omuka nga biri wamu.

23 cEkikondo ky’ettaala n’akikolera ettaala musanvu, ne makansi ezikomola entambi, n’essowaani ez’okussaako ebisirinza, nga byonna abikoze mu zaabu omuka. 24Ekikondo ky’ettaala ne byonna ebigenderako yabikola mu zaabu omuka eyaweza obuzito bwa kilo amakumi asatu mu nnya.

Copyright information for LugEEEE